Acts 7:52 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu balanzi bajjajjammwe ani gwe bataayigganya? Batta n'abo abaali balanze okujja kw'Omutuukirivu, kati mmwe gwe mwalyamu olukwe ne mumutemula;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnabbi ki bajjajjammwe gwe bataayigganya? Batta n’abo abaalangirira okujja kw’Omutuukirivu, gwe mwalyamu olukwe ne mumutta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnabbi ki gwe bataayigganya bajjajjammwe? Battanga abaasooka okubuulira ebigambo eby'okujja kwe Omutuukirivu, gwe mumaze okuwaayo kaakano okumutta;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulanzi ki bajjajjammwe gwe bataayigganya? Batta ababaka ba Katonda abaalanga okujja kw'Omutuukirivu, mmwe gwe mwalyamu olukwe ne mumutta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnabbi ki gwe bataayigganya bajjajjammwe? Battanga abaasooka okubuulira ebigambo eby'okujja kwe Omutuukirivu, gwe mumaze okuwaayo kaakano okumutta;