Acts 7:55 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ye ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, n'atunuulira eggulu enkaliriza, n'alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yezu ng'atudde ku gwa ddyo gwa Katonda;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Suteefano ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, n’atunuulira eggulu enkaliriza, n’alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ng’ayimiridde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu, n'akaliriza amaaso mu ggulu, n'alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ng'ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Siteefano ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, n'atunuulira eggulu, n'alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ng'ayimiridde okuliraana Katonda ku mukono gwe ogwa ddyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu, n'akaliriza amaaso mu ggulu, n'alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ng'ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda;