Acts 7:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'amugamba bw'atyo, nti ezzadde lye liriba ggwiira mu nsi eddala eririfugirayo obuddu ne liriyisa bubi emyaka ebikumi bina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’amugamba nti ezzadde lye, baliba bagenyi mu nsi y’abalala, era balibafuula abaddu, ne babayisa bubi okumala emyaka ebikumi bina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'ayogera bw'ati ng'ezzadde lye baliba bagenyi mu nsi y'abalala; balibafuula abaddu, balibakola obubi emyaka bikumi bina (400).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Katonda yagamba Aburahamu nti: ‘Ab'ezzadde lyo balibeera mu nsi ey'eggwanga eddala, eriribafuga obuddu. Balibayisa bubi okumala ebbanga lya myaka ebikumi bina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'ayogera bw'ati ng'ezzadde lye baliba bagenyi mu nsi y'abalala; balibafuula abaddu, balibakolera obubi emyaka bikumi bina.