Acts 7:60 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'afukamira, n'ayogera n'eddoboozi ddene nti: “Ayi Mukama, tobassaako musango guno.” Bwe yasirissa ebyo, ne yeebaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agwa wansi ku maviivi n’akaaba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mukama wange, tobavunaana olw’ekibi kino.” Bwe yamala okwogera ekyo, n’afa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'afukamira n'akaaba n'eddoboozi ddene nti, “Mukama wange, tobabalira kibi kino.” Bwe yamala okwogera ebyo naafa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'afukamira, n'akoowola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Ayi Mukama, basonyiwe ekibi kino.” Bwe yamala okwogera ebyo n'afa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'afukamira n'akaaba n'eddoboozi ddene nti Mukama wange, tobabalira kibi kino. Bwe yamala okwogera ebyo ne yeebaka.