Acts 7:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'amuwa endagaano y'okutayirirwa. Awo Yiburayimu n'azaala Yizaake, n'amutayirira ku lunaku olwomunaana; Yizaake n'azaala Yakobo, ne Yakobo n'azaala Bajjajjaffe Abakulu ekkumi n'ababiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’amuwa okukomolebwa ng’akabonero ak’endagaano. Awo lbulayimu n’azaala lsaaka, n’amukomola ng’awezezza ennaku munaana ez’obukulu. Isaaka n’azaala Yakobo, ne Yakobo n’azaala bajjajjaffe ekkumi n’ababiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amuwa endagaano ey'okukomola: awo Ibulayimu n'azaala Isaaka, n'amukomolera ku lunaku olw'omunaana: ne Isaaka n'azaala Yakobo: ne Yakobo n'azaala bajjajja abakulu ekkumi n'ababiri (12).”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'akola endagaano eyakakasibwa n'okukomola. Bw'atyo Aburahamu bwe yazaala Yisaaka, n'amukomola ku lunaku olw'omunaana. Yisaaka n'azaala Yakobo, Yakobo n'azaala bajjajjaffe abakulu ekkumi n'ababiri, era bonna baakomolebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amuwa endagaano ey'okukomola: awo Ibulayimu n'azaala Isaaka, n'amukomolera ku lunaku olw'omunaana: ne Isaaka n'azaala Yakobo: ne Yakobo n'azaala bajjajja abakulu ekkumi n'ababiri.