Acts 8:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'akkirizaganya n'okuttibwa kwe. Ku olwo ekiyigganyizo ekinene ne kisitukira Ekleziya y'e Yeruzaalemu. Bonna, okuggyako Abatume, ne basaasaanira mu bitundu by'e Buyudaaya ne Samariya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo yali omu ku abo abaawagira okuttibwa kwa Suteefano. Era ku lunaku olwo okuyigganya Ekkanisa ne kutandika n’amaanyi mangi nnyo mu Yerusaalemi. Abakkiriza bonna, okuggyako abatume, ne basaasaanira mu Buyudaaya ne mu Samaliya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Sawulo yasiima okuttibwa kwa Suteefano. Ne wabaawo ku lunaku olwo okuyigganyizibwa kunene ku kkanisa eyali mu Yerusaalemi. Bonna ne basaasaanira mu nsi z'e Buyudaaya n'e Samaliya, okuggyako abatume.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Sawulo yasiima okuttibwa kwe. Ku lunaku olwo ekibiina ky'abakkiriza Kristo ekyali e Yerusaalemu ne kitandika okuyigganyizibwa ennyo. Bonna okuggyako abatume, ne basaasaanira mu kitundu ky'e Buyudaaya ne Samariya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Sawulo yasiima okuttibwa kwe. Ne wabaawo ku lunaku olwo okuyigganyizibwa kunene ku kkanisa eyali mu Yerusaalemi. Bonna ne basaasaanira mu nsi z'e Buyudaaya n'e Samaliya, wabula abatume.