Acts 8:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe bakkiriza nga Filippo amaze okuyigiriza ku bwakabaka bwa Katonda ne ku linnya lya Yezu Kristu, abasajja n'abakazi ne babatizibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe bakkiriza obubaka bwa Firipo ng’abuulira ku bwakabaka bwa Katonda n’erinnya lya Yesu Kristo abasajja n’abakazi ne babatizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe bakkiriza Firipo ng'abuulira Enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda n'erinnya lya Yesu Kristo, ne babatizibwa abasajja n'abakazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Filipo bwe yategeeza abantu Amawulire Amalungi agafa ku Bwakabaka bwa Katonda ne ku linnya lya Yesu Kristo, abasajja n'abakazi ne bakkiriza, ne babatizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe bakkiriza Firipo ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda n'erinnya lya Yesu Kristo, ne babatizibwa abasajja n'abakazi.