Acts 8:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bbanga eryo ne Simoni naye n'akkiriza. Bwe yamala okubatizibwa, n'asigala ne Filippo. Bwe yalaba obubonero n'ebyewuunyo eby'amaanyi ebikolebwa, n'awuniikirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne Simooni yennyini n’akkiriza era n’abatizibwa, n’agobereranga Firipo buli gye yalaganga; era ebyamagero Firipo bye yakolanga, Simooni n’abyewuunya nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne Simooni yennyini n'akkiriza: bwe yamala okubatizibwa n'abeeranga wamu ne Firipo; bwe yalabanga eby'amagero n'obubonero obunene obwakolebwanga ne yeewuunya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Simooni yennyini n'akkiriza. Era bwe yamala okubatizibwa, n'abeera wamu ne Filipo. Bwe yalaba ebyamagero ebisuffu Filipo bye yakola, n'awuniikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne Simooni yennyini n'akkiriza: bwe yamala okubatizibwa n'abeeranga wamu ne Firipo; bwe yalabanga eby'amagero n'obubonero obunene obwakolebwanga ne yeewuunya.