Acts 8:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
anti mu bo mwali temunnabaamu n'omu gw'azzeeko, kubanga baali babatiziddwa bubatizibwa mu linnya lya Mukama Yezu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga yali tannaba kubakkako, kubanga baali babatizibbwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu kyokka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga yali tannaba kubakkako n'omu ku bo: naye baabatizibwa bubatizibwa okuyingira mu linnya lya Mukama waffe Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga mu bo temwali wadde omu eyali amufunye. Baali babatiziddwa bubatizibwa mu linnya lya Mukama Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga yali tannaba kubakkako n'omu ku bo: naye baabatizibwa bubatizibwa okuyingira mu linnya lya Mukama waffe Yesu.