Acts 8:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Simoni bwe yalaba nga Mwoyo Mutuukirivu aweebwa abatume bwe bassa emikono ku bantu, n'abawa ensimbi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Simooni, Omufumu, bwe yalaba ng’abantu bafunye Mwoyo Mutukuvu olw’abatume okubassaako emikono kyokka, kyeyava atoola ensimbi aziwe abatume bamuguze obuyinza obwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Simooni bwe yalaba ng'olw'okussibwako emikono gy'abatume baaweebwa Omwoyo Omutukuvu, n'abaleetera effeeza
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Simooni bwe yalaba ng'abatume bassa emikono ku bantu, abantu abo ne bafuna Mwoyo Mutuukirivu, n'aleetera abatume ensimbi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Simooni bwe yalaba ng'olw'okussibwako emikono gy'abatume baaweebwa Omwoyo Omutukuvu, n'abaleetera effeeza