Acts 8:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baamala okukakasa n'okubuulira ekigambo ky'Omukama, ne baddayo e Yeruzaalemu nga bagenda bayigiriza Evangili mu byalo bingi eby'Abasamariya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Peetero ne Yokaana bwe baamala okubuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu, ne basitula okuddayo mu Yerusaalemi, nga bagenda babuulira Enjiri mu bibuga bingi bye baayitangamu mu Samaliya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baamala okutegeeza n'okubuulira ekigambo kya Mukama waffe, ne baddayo e Yerusaalemi, ne babuulira Enjiri mu mbuga nnyingi ez'Abasamaliya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Peetero ne Yowanne bwe baamala okwogera ekigambo kya Katonda n'okukinyweza mu bantu, ne baddayo e Yerusaalemu, nga bagenda bategeeza abantu ab'omu byalo by'e Samariya Amawulire Amalungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baamala okutegeeza n'okubuulira ekigambo kya Mukama waffe, ne baddayo e Yerusaalemi, ne babuulira enjiri mu mbuga nnyingi ez'Abasamaliya.