Acts 8:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo malayika w'Omukama n'agamba Filippo nti: “Situka odde emaserengeta ng'okutte ekkubo erikkirira okuva e Yeruzaalemu okulaga e Gaza; lino ddungu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo malayika wa Mukama n’agamba Firipo nti, “Kwata ekkubo eriraga mu bukiikaddyo, eriva e Yerusaalemi nga liyita mu ddungu okugenda e Ggaaza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo malayika wa Mukama n'agamba Firipo nti, “ Golokoka, ogende obukiikaddyo okutuuka mu kkubo eriserengeta okuva mu Yerusaalemi okutuuka e Ggaaza.” Ekkubo eryo lya ddungu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo malayika wa Mukama n'agamba Filipo nti: “Golokoka ogende mu bukiikaddyo, okwate ekkubo eriyita mu ddungu, era eriva e Yerusaalemu okulaga e Gaaza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye malayika wa Mukama n'agamba Firipo ng'ayogera nti Golokoka, ogende obukiika obwa ddyo okutuuka mu kkubo eriserengeta okuva mu Yerusaalemi okutuuka e Ggaaza: ekkubo eryo lya ddungu.