Acts 8:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'asituka n'agenda. Kati nno omusajja Omwesiyopiya, omulaawo, omukungu wa nnaabakyala Kandake ow'Abasiyoopiya eyali akuuma enkuluze ze zonna, yali azze mu Yeruzaalemu okusinza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Firipo n’akwata ekkubo eryo. Mu kiseera ekyo waaliwo omusajja Omwesiyopya mu kkubo eryo ng’ava mu kusinza e Yerusaalemi. Yali mulaawe nga mukungu mu lubiri lwa Kandake, kabaka omukazi owa Esiyopya, era ye yali omuwanika we omukulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agolokoka n'agenda: kale, laba, omuntu Omuwesiyopya, omulaawe omukungu wa Kandake kabaka omukazi ow'Abaesiyopya, eyali omuwanika w'ebintu bye byonna, yali azze e Yerusaalemi okusinza,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agolokoka n'agenda. Mu kiseera ekyo, waaliwo omusajja Omwetiyopiya, omulaawe, omukungu wa kabaka omukazi Kandake owa Etiyopiya, era omuwanika we omukulu. Yali azze e Yerusaalemu okusinza Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agolokoka n'agenda: kale, laba, omuntu Omuwesiyopya, omulaawe omukungu wa Kandake kabaka omukazi ow'Abaesiyopya, eyali omuwanika w'ebintu bye byonna, yali azze e Yerusaalemi okusinza,