Acts 8:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye Sawulo n'agezaako okuzikiriza Ekleziya; yayingiranga mu mayumba n'awalaawala abasajja n'abakazi, n'abassa mu kkomera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Sawulo n’akolerera okuzikiriza Ekkanisa; n’agenda buli wantu ng’akwata abasajja n’abakazi n’abatwala mu kkomera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Sawulo n'afuba okusaanyawo ekkanisa, ng'ayingira mu buli nju, ng'awalula abasajja n'abakazi n'abateeka mu kkomera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Sawulo n'agezaako okuzikiriza ekibiina ky'abakkiriza Kristo ng'ayingira mu buli nnyumba, n'akwata abasajja n'abakazi, n'abateeka mu kkomera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Sawulo n'agirira ekkanisa ekyejo kingi, ng'ayingira mu buli nju, ng'awalula abasajja n'abakazi n'abateeka mu kkomera.