Acts 8:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Filippo n'addukanako, n'amuwulira ng'asoma Yisaaya omulanzi, n'amubuuza nti: “Olowooza by'osoma obitegeera?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Firipo n’adduka n’atuuka ku ggaali, n’awulira Omwesiyopya ng’asoma mu kitabo kya nnabbi Isaaya. N’amubuuza nti, “By’osoma obitegeera?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Firipo n'adduka n'atuuka ku ggaali, n'amuwulira Omuwesiyopya ng'asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya, n'agamba nti, “Otegeera by'osoma?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Filipo bwe yadduka n'agituukako, n'amuwulira ng'asoma ekitabo ky'omulanzi Yisaaya, n'amubuuza nti: “By'osoma obitegeera?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addukana Firipo n'amuwulira ng'asoma nnabbi Isaaya, n'agamba nti Obitegedde by'osoma?