Acts 8:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'addamu nti: “Nnyinza ntya okubitegeera okuggyako nga waliwo annambika?” N'asaba Filippo alinnye atuule naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwesiyopya n’addamu nti, “Nnaabitegeera ntya nga sirina abinnyinnyonnyola?” N’asaba Firipo ayingire mu ggaali lye batuule bombi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amuddamu nti, “Nnyinza ntya, wabula nga waliwo andagirira?” Ne yeegayirira Firipo alinnye atuule naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye n'amuddamu nti: “Nnyinza ntya okubitegeera nga tewali abinnyinyonnyola?” Awo n'ayita Filipo alinnye, atuule wamu naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba nti Nnyinza ntya, wabula nga waliwo anandagirira? Ne yeegayirira Firipo alinnye atuule naye.