Acts 8:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitundu ky'Ekiwandiiko kye yali asoma kye kino: “Yatwalibwa ng'akaliga akatwalibwa mu bbaagiro, ng'endiga etanyega mu maaso g'abagisalako ebyoya; bw'atyo naye teyayasamya kamwa ke.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyawandiikibwa kye yali asoma nga kigamba bwe kiti nti: “Yatwalibwa ng’endiga egenda okuttibwa. Ng’omwana gw’endiga bwe gusiriikirira nga bagusalako ebyoya, naye bw’atyo teyayasamya kamwa ke.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyawandiikibwa kye yali asoma kyali kigamba nti, Yatwalibwa okuttibwa ng'endiga, Era ng'omwana gw'endiga mu maaso g'omusazi w'ebyoya bwe gusirika, Bwe kityo teyayasamya kamwa ke:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitundu ky'ebyawandiikibwa kye yali asoma kigamba nti: “Yali ng'endiga etwalibwa okuttibwa; yali ng'omwana gw'endiga ogutakaaba nga bagusalako ebyoya; teyayogera kigambo na kimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu kifo awaawandiikibwa we yali asoma we wagamba nti Yatwalibwa okuttibwa ng'endiga, Era ng'omwana gw'endiga mu maaso g'omusazi w'ebyoya bwe gusirika, Bwekityo teyayasamya kamwa ke: