Acts 8:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bwetoowaze bwe tebaamusalira mu bwenkanya. Ezzadde lye ani ayinza okulittottola? Anti obulamu bwe bwakwakkulwa ku nsi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yajoogebwa n’atalamulwa mu bwenkanya. Ani alyogera ku bazzukulu be? Kubanga ekiseera kye eky’obulamu bwe ku nsi kyakoma!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kwetoowaza kwe omusango gwe gwaggibwawo: Ekika kye ani alikinnyonnyola? Kubanga obulamu bwe buggibwa mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yafeebezebwa, n'omusango gwe ne gusalirizibwa. Tewali alinnyonnyola lulyo lwe, kubanga obulamu bwe buggyiddwa mu nsi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu kwetoowaza kwe omusango gwe gwaggibwawo: Ekika kye ani alikinnyonnyola? Kubanga obulamu bwe buggibwa mu nsi.