Acts 8:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulaawo n'agamba Filippo nti: “Nkwegayiridde, ekyo omulanzi akyogera ku ani? Ku ye yennyini, nandiki ku mulala?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omulaawe kwe kubuuza Firipo nti, “Nnyinnyonnyola, munnange, nnabbi gw’ayogerako; yeeyogerako yekka oba ayogera ku mulala?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omulaawe n'abuuza Firipo nti, “ Nkwegayiridde, nnabbi yayogera ku ani ebigambo bino? Yeeyogerako yekka oba ayogera ku muntu mulala?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulaawe n'agamba Filipo nti: “Mbuulira, Omulanzi ayogera ku ani? Yeeyogerako yennyini oba ayogera ku mulala?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omulaawe n'addamu Firipo n'agamba nti Nkwegayiridde, nnabbi yayogera ku ani ebigambo bino? Bibye yekka oba bya muntu mulala?