Acts 8:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baali mu kkubo nga bwe bagenda, ne batuuka ku mazzi, omulaawo n'agamba nti: “Laba amazzi! Ekindobera okubatizibwa kiki?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baali bagenda ne batuuka awali amazzi, omulaawe n’agamba nti, “Laba amazzi! Kale lwaki sibatizibwa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baali batambula mu kkubo ne batuuka awali amazzi; omulaawe n'agamba nti, “ Laba, amazzi; kiki ekindobera okubatizibwa?” [
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe beeyongera mu maaso, ne batuuka awali amazzi, omulaawe n'agamba Filipo nti: “Laba amazzi gaagano! Ekiŋŋaana okubatizibwa kiki? [
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baali batambula mu kkubo ne batuuka awali amazzi; omulaawe n'agamba nti Laba, amazzi; kiki ekindobera okubatizibwa?