Acts 8:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baava mu mazzi, Mwoyo w'Omukama n'atwala Filippo; omulaawo teyaddayo kumulabako, n'ayongera olugendo lwe nga musanyufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baava mu mazzi amangwago Omwoyo wa Mukama n’atwala Firipo, Omulaawe n’ataddayo kumulaba nate, naye n’atambula olugendo lwe ng’ajjudde essanyu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baava mu mazzi, Omwoyo wa Mukama n'atwala Firipo, omulaawe n'ataddayo kumulaba nate, naye n'agenda ng'asanyuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baava mu mazzi, Mwoyo wa Mukama n'atwala Filipo, omulaawe n'ataddayo kumulaba, kyokka n'akwata ekkubo lye ng'ajjudde essanyu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baava mu mazzi, Omwoyo gwa Mukama n'atwala Firipo, omulaawe n'atamulaba nate: kubanga yagenda ng'asanyuka.