Acts 8:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga emyoyo emigwagwa gyavanga mu bangi be gyali gikutte nga gireekaana n'eddoboozi ddene; n'abakonzimbye bangi n'abalema ne bawonyezebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baddayimooni bangi ne bava ku bantu nga bwe baleekaana; abaali bakoozimbye n’abalema bonna ne bawonyezebwa;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bangi ku bo abaaliko badayimooni, ne babavangako nga bakaaba n'eddoboozi ddene: ne bawonanga bangi abaali balwadde okukoozimba n'abalema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emyoyo emibi gyavanga ku bantu nga gikaaba n'eddoboozi ery'omwanguka. Era bangi abakoozimbye n'abalema, ne bawonyezebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bangi ku bo abaaliko dayimooni, ne babavangako nga bakaaba n'eddoboozi ddene: ne bawonanga bangi abaali balwadde okukoozimba n'abalema.