Acts 8:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waaliwo omusajja, erinnya lye Simoni, emabegako eyali akoze obulaguzi mu kibuga omwo, ng'awuniikiriza ensi ya Samariya, nga yeeyita ow'ekitalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo omusajja erinnya lye Simooni eyali omufumu omwatiikirivu mu kibuga omwo era nga yeewuunyisa nnyo abantu bonna mu Samaliya. Yeeyogerangako nti muntu mukulu era wa kitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye waaliwo omuntu omu, erinnya lye Simooni, eyakolanga eddogo edda mu kibuga omwo n'awuniikirizanga eggwanga ly'e Samaliya, ng'agamba nti, ye mukulu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye waaliwo omusajja erinnya lye Simooni, eyakolanga eby'obulogo mu kibuga ekyo, n'asamaaliriza Abasamariya. Yagambanga nti ye, muntu wa kitalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye waaliwo omuntu omu, erinnya lye Simooni, eyakolanga eddogo edda mu kibuga omwo n'awuniikirizanga eggwanga ly'e Samaliya, ng'agamba nti ye mukulu;