Acts 9:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Damasiko waaliyo omuyigirizwa, erinnya lye Ananiya; Omukama n'amulabikira n'amugamba nti: “Ananiya.” N'addamu nti: “Nzuuno, Mukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu Damasiko mwalimu omuyigirizwa ng’ayitibwa Ananiya. Mukama n’ayogera naye mu kwolesebwa n’amuyita nti, “Ananiya!” N’addamu nti, “Nze nzuuno, Mukama wange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yaliyo omuyigirizwa mu Ddamasiko, erinnya lye Ananiya; Mukama waffe n'amugamba mu kwolesebwa nti, “ Ananiya.” N'addamu nti, “nze nzuuno, Mukama wange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo omuyigirizwa mu Damasiko, erinnya lye Ananiya. Mukama n'amulabikira n'amugamba nti. “Ananiya!” N'addamu nti: “Nzuuno Mukama wange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yaliyo omuyigirizwa mu Ddamasiko, erinnya lye Ananiya; Mukama waffe n'amugamba mu kwolesebwa nti Ananiya. N'amugamba nti Laba, nze nzuuno, Mukama wange.