Acts 9:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era alabye omusajja erinnya lye Ananiya ng'ayingira, n'amussaako emikono addemu okulaba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mmulaze mu kwolesebwa omuntu ayitibwa Ananiya ng’ajja gy’ali era ng’amussaako emikono okumusabira amaaso ge galabe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era alabye omuntu, erinnya lye Ananiya, ng'ayingira, ng'amussaako emikono azibule.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era alabikiddwa omuntu, erinnya lye Ananiya, ng'ayingira era ng'amussaako emikono addemu okulaba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era alabye omuntu, erinnya lye Ananiya, ng'ayingira, ng'amussaako emikono azibule.