Acts 9:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Ananiya n'addamu nti: “Mukama, mpulidde bangi nga boogera ku muntu oyo obubi bwonna bw'akoledde abatuukirivu bo mu Yeruzaalemu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ananiya n’agamba nti, “Naye Mukama wange, nga mpulidde ebintu ebitali birungi bingi nnyo omuntu oyo by’akoze abakkiriza abali mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Ananiya n'addamu nti, “ Mukama wange, omuntu oyo nnawulira ebigambo bye mu bangi, obubi bwe yakolanga abatukuvu bo abali e Yerusaalemi bwe buli obungi:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ananiya n'amuddamu nti: “Mukama wange, mpulidde bangi nga boogera ku musajja oyo, nga bw'abonyaabonyezza abantu bo abali mu Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Ananiya n'addamu nti Mukama wange, omuntu oyo nnawulira ebigambo bye mu bangi, obubi bwe yakolanga abatukuvu be abali e Yerusaalemi bwe buli obungi: