Acts 9:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'amugamba nti: “Genda, kubanga oyo mukutu gwange gwe neerondedde okutuusa erinnya lyange mu b'amawanga ne mu bakabaka ne mu baana ba Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Mukama n’amugamba nti, “Ggwe genda okole kye ŋŋambye. Kubanga Sawulo mmulonze okutwala erinnya lyange eri Abaamawanga ne bakabaka, era n’eri abaana ba Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mukama waffe n'amugamba nti, “ Genda; kubanga oyo kye kibya ekironde gye ndi okutwalanga erinnya lyange mu maaso g'amawanga ne bakabaka n'abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'amugamba nti: “Genda, kubanga oyo nze mwerondedde ammanyise mu b'amawanga amalala, ne mu bakabaka, ne mu bantu ba Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Mukama waffe n'amugamba nti Genda; kubanga oyo kye kibya ekironde gye ndi okutwalanga erinnya lyange mu maaso g'amawanga ne bakabaka n'abaana ba Isiraeri.