Acts 9:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Ananiya n'agenda, n'ayingira mu nnyumba, n'amussaako emikono ng'agamba nti: “Sawulo owooluganda, Omukama Yezu eyakulabikira bwe wali mu kkubo ng'ojja, antumye gy'oli oddemu okulaba, era ojjuzibwe Mwoyo Mutuukirivu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Ananiya n’agenda n’ayingira mu nnyumba Sawulo mwe yali n’amussaako emikono n’amugamba nti, “Owooluganda Sawulo, Mukama waffe Yesu eyakulabikira mu kkubo ng’ojja antumye gy’oli, oddemu okulaba era ojjuzibwe Mwoyo Mutukuvu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ananiya n'agenda n'ayingira mu nnyumba, bwe yamussaako emikono n'ayogera nti, “ Ow'oluganda Sawulo, Mukama waffe antumye, Yesu eyakulabikira mu kkubo ng'ojja, ozibule ojjuzibwe Omwoyo Omutukuvu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ananiya n'agenda, n'ayingira mu nnyumba, n'amussaako emikono, n'amugamba nti: “Owooluganda Sawulo, Mukama Yesu yennyini eyakulabikira bwe wali mu kkubo ng'ojja, antumye oddemu okulaba, era ojjuzibwe Mwoyo Mutuukirivu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ananiya n'agenda n'ayingira mu nnyumba, bwe yamussaako emikono n'ayogera nti Ow'oluganda Sawulo, Mukama waffe antumye, Yesu eyakulabikira mu kkubo lye wafulumamu, ozibule, ojjuzibwe Omwoyo Omutukuvu.