Acts 9:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago ku maaso ge ne kuvaako ebiri ng'amagamba, ne bigwa; n'addamu okulaba, n'asituka, n'abatizibwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago ebintu ebyali ng’amagamba ne bigwa okuva ku maaso ga Sawulo n’asobola okulaba, n’ayimirira n’abatizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amangwago ku maaso ge ne kuba ng'okuvuddeko amagamba, n'azibula, n'ayimirira n'abatizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago, ku maaso ge ne kuvaako ebintu ebiri ng'amagamba g'ebyennyanja, n'asobola okuddamu okulaba. N'agolokoka n'abatizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amangu ago ku maaso ge ne kuba ng'okuvuddeko amagamba, n'azibula, n'ayimirira n'abatizibwa: