Acts 9:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'amusaba ebbaluwa ez'okumwanjula mu sinaagooga mu Damasiko, ng'abadde asanzeeyo abasajja n'abakazi ab'Ekkubo, abaleete e Yeruzaalemu nga basibe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’amusaba awandiikire ab’omu makuŋŋaaniro ag’omu Damasiko ebbaluwa, ng’ebasaba bakolagane naye mu kuyigganya abakkiriza bonna abasajja n’abakazi b’alisanga eyo, abasibe mu njegere, alyoke abaleete e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'amusaba ebbaluwa ez'okugenda e Ddamasiko, eri amakuŋŋaaniro, bw'alirabayo abantu ab'Ekkubo, oba nga basajja oba bakazi, abasibe abaleete e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'amusaba ebbaluwa emuwa obuyinza okugenda mu makuŋŋaaniro ag'e Damasiko, akwate abasajja n'abakazi abatambulira mu Kkubo lya Mukama, abaleete e Yerusaalemu basibibwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amusaba ebbaluwa ez'okugenda e Ddamasiko, eri amakuŋŋaaniro, bw'alirabayo abantu ab'ekkubo, oba nga basajja oba bakazi, abasibe abaleete e Yerusaalemi.