Acts 9:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaali bamuwulira bonna ne bawuniikirira, ne bagamba nti: “Ono si ye wuuyo eyali asaanyaawo ab'omu Yeruzaalemu abaali bakoowoola erinnya eryo? Era si kye kyamuleeta n'eno alyoke abatwalire bakabona abakulu nga basibe?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bonna abaamuwulira ne beewuunya, ne beebuuza nti, “Si y’ono eyayigganyanga ennyo abagoberezi ba Yesu mu Yerusaalemi? Ate twawulira nga yeesonga eyamuleeta abakwate abatwale eri bakabona abakulu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna abaamuwulira ne beewuunya ne bagamba nti, “Si y'ono eyayigganyanga ennyo mu Yerusaalemi abaasabanga erinnya eryo? Kye kyamuleeta ne wano abasibe abatwale eri bakabona abakulu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna abaamuwulira ne bawuniikirira, ne bagamba nti: “Ono si ye wuuyo eyayigganyanga ab'omu Yerusaalemu abakowoola erinnya eryo? Era si kye kyamuleeta ne wano abasibe, abatwale eri bakabona abakulu?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bonna abaamuwulira ne beewuunya ne bagamba nti Si ye wuuno eyanyaganga mu Yerusaalemi abaasabanga erinnya eryo? kye kyamuleeta ne wano abasibe abatwale eri bakabona abakulu.