Acts 9:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Barunaba n'amuddira n'amutwala eri Abatume; n'abanyumiza nga bwe yalaba Omukama n'ayogera naye, era nga bwe yayigiriza n'obuvumu mu Damasiko mu linnya lya Yezu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Balunabba n’amuleeta eri abatume n’abategeeza nga Sawulo bwe yalaba Mukama mu kkubo era n’ayogera nga bwe yabuulira n’obuvumu mu Damasiko mu linnya lya Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Balunabba n'amutwala n'amuleeta eri abatume, n'abannyonnyola bwe yalaba Mukama waffe mu kkubo, era nti yayogera naye, ne bwe yabuulira n'obugumu mu Ddamasiko mu linnya lya Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Barunaba n'amutwala n'amwanjula eri abatume, n'abategeeza nga Sawulo bwe yali mu kkubo n'alaba Mukama, era nga Mukama bwe yayogera naye. Era n'abategeeza nga Sawulo bwe yali mu Damasiko n'ayogera n'obuvumu mu linnya lya Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Balunabba n'amutwala n'amuleeta eri abatume, n'abannyonnyola bwe yalaba Mukama waffe mu kkubo, era nti yayogera naye, ne bwe yabuulira n'obugumu mu Ddamasiko mu linnya lya Yesu.