Acts 9:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda bwe baakitegeera, ne bamukkiriza e Kayisariya, na bamusindika e Taruso.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka abooluganda bwe baawulira nga Sawulo ali mu kabi bwe katyo ne bamutwala e Kayisaliya ne bamuweereza e Taluso.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'oluganda bwe baategeera ne bamutwala e Kayisaliya, ne bamusindika e Taluso.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda bwe baakimanya, ne bamutwala e Kayisaariya, ne bamuweereza e Taruso.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ab'oluganda bwe baategeera ne bamutwala e Kayisaliya, ne bamusindika e Taluso.