Acts 9:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Ekleziya n'afuna emirembe wonna mu Buyudaaya, mu Galilaaya ne mu Samariya; ne yeezimba, ng'atambulira mu kutya Omukama ne mu kikubagizo kya Mwoyo Mutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo Ekkanisa n’eba n’emirembe mu Buyudaaya, ne mu Ggaliraaya ne mu Samaliya; ne yeeyongera mu maanyi ne mu muwendo gw’abantu abakkiriza. Ne bayiga okutya Mukama, era Mwoyo Mutukuvu n’abasanyusanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekkanisa eyali mu Buyudaaya bwonna ne mu Ggaliraaya ne mu Samaliya n'eba n'emirembe, ng'ezimbibwanga; era ng'etambuliranga mu kutya Mukama waffe ne mu ssanyu ery'Omwoyo Omutukuvu ne yeeyongera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Buyudaaya bwonna ne Galilaaya ne Samariya ne kiba mirembe, era ne kinywezebwa, ne kyeyongera obunene, nga kissaamu Katonda ekitiibwa, nga ne Mwoyo Mutuukirivu akijjuza essanyu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ekkanisa eyali mu Buyudaaya bwonna ne mu Ggaliraaya ne mu Samaliya n'eba n'emirembe, ng'ezimbibwanga; era ng'etambuliranga mu kutya Mukama waffe ne mu ssanyu ery'Omwoyo Omutukuvu ne yeeyongera.