Acts 9:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mu Yoppa mwalimu omuyigirizwa omu omukazi erinnya lye Tabita, ekivvuunulwa nti Doruka. Yali mujjumbize w'ebikolwa ebirungi n'okugabira abaavu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kibuga Yopa mwalimu omuyigirizwa ayitibwa Tabbiisa, mu Luyonaani ng’ayitibwa Doluka. Yali mukkiriza, bulijjo eyakoleranga abalala ebyekisa n’okusingira ddala abaavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo waaliwo mu Yopa omukazi omuyigirizwa, erinnya lye Tabbiisa, mu Luyonaani ng'ayitibwa Doluka, omukazi oyo yali ajjudde ebikolwa ebirungi n'ebintu bye yagabanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu Yoppa mwalimu omukazi erinnya lye Tabbiita, mu Luyonaani Doruka, ekitegeeza engabi. Tabbiita oyo yakolanga ebikolwa ebirungi bulijjo, era ng'agabira abaavu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo waaliwo mu Yopa omukazi omuyigirizwa, erinnya lye Tabbiisa (okutegeezebwa kwalyo ayitibwa Doluka): omukazi oyo yali ajjudde ebikolwa ebirungi n’abintu bye yagabanga.