Acts 9:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Lidda kyali kumpi ne Yoppa, abayigirizwa ne bawulira nga Petero ali eyo, ne bamutumira abasajja babiri, ne bamwegayirira nti: “Jjangu ewaffe, tolwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe baawulira nga Peetero ali kumpi awo mu kibuga Luda ne bamutumira abasajja babiri ne bamwegayirira ajje e Yopa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kubanga Luda kyali kumpi ne Yopa, abayigirizwa bwe baawulira nga Peetero gyali, ne bamutumira abantu babiri nga bamwegayirira nti, “ Tolwa, jjangu gyetuli.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoppa kyali kumpi ne Lida. Awo abayigirizwa abaali e Yoppa bwe baawulira nti Peetero ali mu Lida, ne bamutumira abasajja babiri, ne bamugamba nti: “Tukwegayiridde, jjangu mangu gye tuli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kubanga Luda kyali kumpi ne Yopa, abayigirizwa bwe baawulira nga Peetero gyali, ne bamutumira abantu babiri nga bamwegayirira nti Tolwa, tuukirira gye tuli.