Acts 9:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Petero n'asituka n'agenda nabo. Bwe yatuuka, ne bamulinnyisa mu kisenge ekya waggulu. Bannamwandu bonna ne bayimirira w'ali nga bamwebunguludde nga bakaaba; ne bamulaga ebiteeteeyi n'ebyambalo Doruka bye yali akoze ng'akyali nabo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akkiriza. Amangu ddala nga yaakatuuka ne bamutwala mu kisenge ekya waggulu omulambo gwa Doluka gye gwali gugalamizibbwa. Ekisenge kyali kijjudde bannamwandu abaali bakaaba nga bwe balagaŋŋana ebyambalo Doluka bye yali abakoledde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Peetero n'agolokoka n'agenda nabo. Bwe yatuuka ne bamutwala mu kisenge ekya waggulu: ne bannamwandu bonna ne bayimirira kumpi naye, nga bakaaba nga boolesa ebizibawo n'ebyambalo Doluka bye yakolanga ng'akyali nabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Peetero n'asitula, n'agenda nabo. Bwe yatuukayo n'atwalibwa mu kisenge ekya waggulu. Bannamwandu bonna ne bamwetooloola nga bakaaba era nga bamulaga amakooti n'engoye endala Doruka bye yakola ng'akyali mulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)