Acts 9:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Petero bonna n'abafulumya, n'afukamira, ne yeegayirira, n'akyukira omulambo, n'agamba nti: “Tabita, yimuka.” N'azibula amaaso ge; bwe yalaba Petero, n'atuula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Peetero n’abasaba bonna bafulume, n’afukamira n’asaba. N’akyukira omulambo n’ayogera nti, “Tabbiisa golokoka.” Tabbiisa n’azibula amaaso, era bwe yalaba Peetero n’atuula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Peetero n'abafulumya bonna n'afukamira n'asaba; n'akyukira omulambo n'agamba nti, “ Tabbiisa, yimirira.” N'azibula amaaso ge; awo bwe yalaba Peetero, n'agolokoka n'atuula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Peetero n'abafulumya ebweru bonna, n'afukamira ne yeegayirira Katonda. N'akyukira omulambo, n'agamba nti: “Tabbiita, golokoka.” Awo Tabbiita n'azibula amaaso ge. Bwe yalaba Peetero, n'atuula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Peetero n'abafulumya bonna n'afukamira n’asaba; n'akyukira omulambo n'agamba nti Tabbiisa, yimirira. N'azibula amaaso ge; awo bwe yalaba Peetero, n'agolokoka n'atuula.