Acts 9:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Petero n'amusuulira omukono, n'amuyimusa, n'ayita abatuukirivu ne bannamwandu, n'abamukwasa nga mulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Peetero n’amukwata ku mukono amuyambe okuyimuka, n’alyoka ayita abakkiriza ne bannamwandu, n’abamukwasa nga mulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amuwa omukono n'amuyimusa; awo bwe yamala okuyita abatukuvu ne bannamwandu, n'abamukwasa nga mulamu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Peetero n'amukwata ku mukono, n'amuyimusa. Awo n'ayita bannamwandu n'abakkiriza abalala, n'amubalaga nga mulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amuwa omukono n'amuyimusa; awo bwe yamala okuyita abatukuvu ne bannamwandu, n'amuleeta, nga mulamu.