Acts 9:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja abaali batambula naye, baali bayimiridde nga bawuniikiridde; eddoboozi baali baliwulira, naye nga tebaliiko gwe balaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja abaali ne Sawulo ne bayimirira nga basobeddwa n’ekyokwogera nga kibabuze kubanga baawulira eddoboozi ng’ery’omuntu naye nga tebalaba ayogera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abaali batambula naye ne bayimirira nga basamaaliridde, kubanga bawulidde eddoboozi naye ne batalaba muntu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja abaali batambula ne Sawulo ne bayimirira nga basamaaliridde, kubanga baawulira eddoboozi, naye nga tebalaba muntu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abaali batambula naye ne bayimirira nga basamaaliridde, kubanga bawulidde eddoboozi naye ne batalaba muntu.