Acts 9:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agolokoka wansi; naye bwe yazibula amaaso, nga takyalaba kantu. Ne bamukwata ku mukono ne bamuyingiza mu Damasiko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo bwe yayimuka wansi n’agezaako okutunula naye ng’amaaso ge tegalaba. Era baamukwata bukwasi ku mukono okumuyingiza mu Damasiko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'agolokoka wansi, n'agezaako okutunula naye ng'amaaso ge nga tegalaba, ne bamukwata ku mukono ne bamuleeta e Ddamasiko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'agolokoka. Bwe yazibula amaaso ge, n'atasobola kulaba. Ne bamukwata ku mukono, ne bamuyingiza mu Damasiko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'agolokoka wansi, amaaso ge bwe gaazibuka, n'atalaba kintu: ne bamukwata ku mukono ne bamuleeta e Ddamasiko.