Amos 1:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Olw'emisango esatu egya Edomu, n'olw'emisango ena, kye nateesa sijja kukijjulula, kubanga yawondera muganda we n'ekitala, ekisa yakissa ebbali, obusungu bwe ne bwongera okutumbuka, obuswandi bwe ne butaamuuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Edomu ebisatu, weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga yayigganya muganda we n’ekitala awatali kusaasira, obusungu bwabwe ne bubuubuuka obutakoma era ne batabusalako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Edomu bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga bayigganyanga baganda baabwe aba Isiraeri ne babatta awatali kusaasira n'akatono. Obusungu bwabwe ne bubuubuuka obutakoma, ne batabusalako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Edomu bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga baayigganya baganda baabwe Abayisirayeli, ne babatta awatali kusaasira n'akatono. Obusungu bwabwe ne butakendeerako, ne babeera nabwo ennaku zonna. 35:1-15; Ob 1-14; Mal 1:2-5
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Edomu bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwe okumuvaako; kubanga yayigganyanga muganda we n'ekitala, n'asuula okusaasira kwonna, obusungu bwe ne butaagulataagula ennaku zonna n'aguguba n'ekiruyi kye emirembe gyonna: