Amos 1:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Olw'emisango esatu egy'Abammoni, n'olw'emisango ena, kye nateesa sijja kukijjulula, kubanga baabaaga abakazi b'e Gileyaadi abaali embuto, basobole bwe batyo okugaziya ensalo zaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Amoni ebisatu weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Mu ntalo ez’okugaziya ensi ye, yabaaga abakazi abaali embuto ab’e Giriyaadi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Amoni bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga mu ntalo ze baalwana okugaziya ensi yaabwe, baabaaga abakazi abali embuto ab'e Giriyaadi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Ammoni bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga mu ntalo ze baalwana okugaziya ensi yaabwe, baabaaga abakazi b'e Gileyaadi abali embuto.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono eby'abaana ba Amoni bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwabwe okubavaako; kubanga babaaze abakazi abali embuuto ab'e Giriyaadi, balyoke bagaziye ensalo yaabwe: