Amos 1:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kuteekera omuliro bbugwe wa Rabba ogunaasenkenyeza ddala embiri zaakyo, eno enduulu nga zitakira ku lunaku olw'olutalo, ne mu muyaga omungi ku lunaku olwa kikuŋŋunta;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndiweereza omuliro ku bbugwe wa Labba, era gulyokya ebigo byakyo. Walibaawo n’oluyoogaano olunene ku lunaku olw’olutalo mu mpewo ey’amaanyi, kibuyaga ng’akunta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale ndikuma omuliro mu bbugwe we kibuga Labba, era gulyokya amayumba gaakyo. Walibaawo okuleekaana ku lunaku olw'olutalo, era okulwana kuliwuuma nga kibuyaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyendiva nkoleeza omuliro ku bisenge by'ekibuga Rabba ne gwokya amayumba gaakyo. Walibaawo okuleekaana ku lunaku olw'olutalo, era okulwana kuliwuuma nga kibuyaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ndikuma omuliro mu bbugwe w'e Labba, era gulyokya amayumba gaakyo, nga baleekaana ku lunaku olw'olutalo, kibuyaga ng'akunta ku lunaku olw'embuyaga ez'akazimu: