Amos 1:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Olw'emisango esatu egya Damasiko, n'olw'emisango ena, kye nateesa sijja kukijjulula, kubanga bawuula Gileyaadi n'empuuzo ez'ebyuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Ddamasiko ebisatu, weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga baabonereza nnyo abantu b’e Gireyaadi nga babasalaasala n’ebyuma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Ddamasiko, bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza. Baabonyaabonyeezza abantu b'e Gireyaadi nga baabasalasala n'ebyuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Damasiko bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza. Baabonyaabonya abantu b'e Gileyaadi mu bukambwe obungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bisatu ebya Ddamasiko, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaako; kubanga bawudde Gireyaadi n'ebintu ebiwuula eby'ebyuma: