Amos 1:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kusindika omuliro mu nnyumba ya Kazayeli, ogunaasenkenyeza ddala embiri za Beni-Adadi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndiweereza omuliro mu lubiri lwa kabaka Kazayeeri era njokye n’ebigo bya kabaka Benikadadi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale ndiweereza omuliro ku lubiri lwa kabaka waabwe Kazayeeri, era gulyokya n'ebigo bya kabaka Benukadadi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyendiva nkozesa omuliro ku lubiri lwa kabaka Azayeeli, ne njokya ebigo bya kabaka Benadaadi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ndiweereza omuliro mu nnyumba ya Kazayeeri, kale gulyokya amayumba ga Benukadadi.