Amos 1:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kumenya emiyingo gya Damasiko, nzikirize abatuuze b'omu Kiwonvu kya Aveni, n'oyo akutte ddamula e Beti-Edeni; abantu ba Aramu bajja kutwalibwa mu busibe e Kiri.” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndimenya enzigi z’ekibuga Ddamasiko era ndizikiriza kabaka ali mu Kiwonvu ky’e Aveni, oyo akwata omuggo ogw’obwakabaka mu Besiadeni. Abantu b’e Busuuli balitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Kiri,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndimenya aguuma agasiba enzigi z'ekibuga Ddamasiko, era n'abantu abamu balisalibwako okutuukira ddala mu kiwonvu kye Aveni, n'oyo akwata omuggo gw'obwakabaka ndimumalawo okuva mu nnyumba ya Besi-Edeni. Abantu b'e Busuuli balitwalibwa mu busibe e Kiri, bwatyo bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndimenya ebisiba enzigi z'ekibuga Damasiko, ne mmalawo ab'omu Kiwonvu ky'e Aveni, n'omufuzi w'e Betedeni. Abantu b'omu Siriya balitwalibwa nga basibe mu nsi y'e Kiiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndimenya ekisiba kya Ddamasiko, ne mmalawo oyo abeera mu kiwonvu kya Aveni, n'oyo akwata omuggo ogw'obwakabaka ndimumalawo okuva ku nnyumba ya Adeni: n'abantu ab'e Busuuli baligenda mu busibe e Kiri, bw'ayogera Mukama.