Amos 1:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Olw'emisango esatu egya Gaza, n'olw'emisango ena, kye nateesa sijja kukijjulula, kubanga baasiba abantu bonna ne babatunda mu Edomu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Olw’ebyonoono bya Gaza ebisatu, weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga yatwala eggwanga ddamba mu busibe n’alitunda eri Edomu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Gaza bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga batwala abantu ab'omu ggwanga lyonna nga basibe, ne babatunda mu Edomu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Gaaza bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga baatwala abantu ab'omu ggwanga lyonna nga basibe, ne babatunda mu Edomu. 2:4-7; Zek 9:5-7
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Gaza bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaako; kubanga batwala nga basibe eggwanga lyonna okubawaayo eri Edomu: