Amos 1:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kusaanyaawo abatuuze b'omu Asudodi, n'oyo akutte ddamula e Asukeloni. Omukono gwange nzija kugukyusiza ku Ekuroni; N'abasigaddewo mu Bafilisitiini balizikirira.” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndizikiriza atuula mu Asudodi, n’oyo akwata omuggo gw’obwakabaka ndimumalawo okuva mu Asukulooni. Ndibonereza Ekuloni okutuusa lwe ndimalirawo ddala Abafirisuuti,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndimalawo abafuzi b'omu bibuga Asudodi ne Asukulooni. Ndibonereza ekibuga Ekuloni, n'ekitundu ekifisseewo eky'Abafirisuuti balizikirira, bwatyo bw'ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndimalawo abafuzi b'omu bibuga Asudoodi ne Asukelooni. Ndibonereza ekibuga Ekurooni, era n'Abafilistiya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndimalawo abali mu Asudodi, n'oyo akwata omuggo ogw'obwakabaka ndimumalawo okuva ku Asukulooni: era ndikyusa omukono gwange okulwana ne Ekuloni, n'ekitundu ekifisseewo eky'Abafirisuuti balizikirira, bw'a yogera Mukama Katonda.