Amos 1:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Olw'emisango esatu egya Tiiro, n'olw'emisango ena, kye nateesa sijja kukijjulula, kubanga baddira ebibinja by'abasibe byonna ne babitunda mu Edomu, ne batajjukira mukago gwa bwaluganda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama bw’ati bw’ayogera nti, “Olw’ebyonoono bya Ttuulo ebisatu, weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga yatunda eggwanga ddamba erya Edomu mu busibe n’amenya endagaano ey’obwaseruganda eyali ekoleddwa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Ttuulo bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga baawaayo eggwanga lyonna nga basibe eri Edomu ne batajjukira ndagaano ey'ab'oluganda eyali ekoleddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Abantu b'omu Tiiro bakoze ebibi emirundi n'emirundi. N'olwekyo sirirema kubabonereza, kubanga baatwala abantu ab'omu ggwanga lyonna nga basibe, mu Edomu, ne batakuuma ndagaano ey'omukwano gye baakola nabo. 11:21-22; Luk 10:13-14
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Ttuulo bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaako; kubanga bagabula eggwanga lyonna eri Edomu ne batajjukira ndagaano ey'oluganda: